Skip to content Skip to footer

Nambooze tazze omusango nebagwongezaayo

Bya Ruth Anderah

Omusango gwomubaka owa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze ogwokukuma omuliro mu bantu gwongezeddwayo okutukira ddala nga October 8th bwalemereddwa okutuuka mu kooti mu budde.

Omulamuzi we ddaala erisooka mu kooti e Nakawa t Jackline Kagoda, yayongezaayo omusango guno.

Nambooze kigambibwa nti yakuma omuliro mu bantu okukola obulabe ku bakungu mu gavumenti, wabula omusango gweyegaana.

Kooti etude munamateeka womubaka Abudllah Kiwanuka nategeeza nti omuntu we taliiwo, nayenga abadde ali mu kkubo.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, Nambooze nga June 9th  alina byeyawnadiika ku mikutu muyunga bantu, ekyandiba nga kyekyavaako okutemulwa kwomubaka Ibrahim Abiriga nomukuumi we.

 

Leave a comment

0.0/5