Bya Ivan Ssenabuly
Abanoonya akululu mu NRM mu district ye Mukono jiyite Task Force batabukidde abakulembezze baabwe olw’okubakozesa mu biseera eby’okunoonya obululu nabamala nebabeerabira.
Bano bagamba nti babakozesa nnyo mu mwaka gwa 2016 kyokka okulonda olwaggwa tebaddanga.
Basinzidde mu nsisinkano gyebabaddemu ku Satelite Beach e Mukono nabalumirizza nti n’ebimu ku bintu Presidenti byazze ng’abaweerezza, abanene tebabituusa.