Bya Kyeyune Moses.
Nate leero Palamenti eremededdwa okuteesa ku nongosereza mu bago ly’eteeka elya Mobile money , nga kino kidiridde ababaka ba palamenti okugaana okuwera okukakana nga sipiika olutuula alw’ongedeyo okutuusa ku lw’okubiri sabiiti egya.
Mukusooka sipiika yasoose nayimirizaamu okuteesa okumala edakiika 15 nga ayagala ababaka bawere, kyoka era tekisobose kuweza babaka bano okukakana nga ensonga zijulidde.
Tukitegedeko nti wabadewo ababaka abakunga banaabwe obutagenda mu palamenti, nga bagamba nti ebago lino tebaliwagira.
Kinajukirwa nti enongosereza zino zigenderedwamu kukendeeza ku musolo gwa Mobile money okuva ku nusu 1%, gudde ku bitundu 0.5%.