Bya Kato Joseph.
Amajje ge gwanga gategeezeza nga bwegaakawandiika abantu 1,233 okwegatta ku bakuuma dembe aba LDU.
Amajje gatubuulidde nti bano okusinga baawandiikiddwa wano e Kampala Wakiso ne Mukono, wabula nga balemereddwa okuwezza omuwendo ogw’abantu 700 mubili kifo nga bwebaali basuubira.
Abakulu betwogedeko nabo batubuulidde nti omuwendo gw’abo abaagala okuyingora gugaanye okuwera kubanga abajja abasinga tebalina bisaanyizo
Tukitegedde nti e Wakiso abaagala okuyingira bawandiise 288 e Mukono, 57 Kawempe 75 , Kira Road,217 Nakawa 373 Lubaga wabadeyo 184 bokka
Maj Henry Obbo nga ono yaayogerera amajje g’okutaka agambye nti kawefube ekyatambula bulungi.