Skip to content Skip to footer

Banakyewa baagala eteeka lya UPDF lirongosebwemu.

Bya Ritah Kemigisa.

Ebibiina ebirwanirira edembe ly’obuntu ebyeggattira mu mukago ogwa Human Rights Network Uganda bisazeewo okukola omukago mwebagenda okuyita okulwana okulaba nga eteeka elya UPDF act likolebwamu enkyukakyuka.

Twogedeko n’omukwanaganya w’ekitongole kino Patrick Tumwine,  naagamba nti bano nga beegase nebanamateeka aba Uganda Law society kko ne Human Rights commission bakaanyiza okulaba nga okulongoosa mu teeka lino bakyanguya

Ono agamba nti bamaze okukola okwebuza okumala nebakakasa nti kino kisoboka.

Bano kyebasinga okwagala kwekulaba nga  abantu baabulijjo bakoma okutwalibwa mu kooti y’amajje okuvunanibwa.

Leave a comment

0.0/5