Skip to content Skip to footer

KCCA yegaanye okutunda amasomero

Bya Prosy Kisakye

Ekitongole ekitwala ekibuga ekikulu, ekya Kampala Capital City Authority bawakanyizza ebigambibwa nti balina entekateeka okutunda essomero lya Nakivubo Blue ne Nakivubo Settlement Primary School.

Okwemulugunya kuno kwaleteddwa, omubaka wa Kalungu West Joseph Sewungu abakungu okuva mu KCCA bebabadde beyanjudde eri akakiiko ka palamenti ek’ebyenjigiriza, akakubirizibwa omubaka we Pallisa Jacob Opolot.

Wabula Juliet Namuddu, akulira ebyenjigiriza ku KCCA, bino abiwakanyizza.

Agambye nti ettaka lyessomero lya Nakivubo Blue Primary School baliriranko ekyapa, nayenga oikusomozebwa kukyali ku ssomero luya Nakivubo Settlement.

Leave a comment

0.0/5