Skip to content Skip to footer

Bobie Wine agamba tagenda kwa’bulira Kuyimba olwebyo’bufuzi

Oluvanyuma lw’omuyimbi Bobi Wine amanya amatuufu, Robert Kyagulanyi okuwuuta akalulu ku ekifo ky’omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti, abayimbi bagamba nti kino kigenda kubongera amaanyi.

Akulira ekibiina ekigatta abayimbi nebannakatemba mu gwanga, Andrew Benon Kibuuka agamba kano kabonero akalaga nti abayimbi nabo basobola okuwa abantu esuubi kale ababadde babayeeya nti ba musomo gwalemwa ensi ye ssaawa okukikomya.

Kibuuka agamba Bobi Wine awadde abayimbi bangi essuubi nti nabo basobola okutuuka kwebyo byebakkiririzaamu.

Wabula alabudde abayimbi abalala nabo okwongera okusoma baleme okusubwa emikisa nga gino nga gizze.

Kati ye, Bobi Wine agamba yadde nga yayiseemu okugenda mu palamenti, kikafuuwe okuva ku muziki.

Bobie anyonyodde nti ebidongo byebimutuusizza wali kalenga wakuyita mu nyimba ze okutuusa obubaka obwenjawulo eri abantu be.

Bobie Wine yakukumbye obululu 25659, owa NRM Ssitenda Ssebalu eyawazewazeeko yabuseeyo nabululu 4552 bwokka , ye abadde omubaka w’ekitundu kino Apollo Kantinti akyevuma ekyaleeta Bobi Wine mu lwokaano nga yafunyeyo  1832.

Amangu ddala nga ky’ajje alangirirwe , Bobie Wine y’ategezezza nga bw’agenda okukolagana na buli Muntu okumalawo enjawukana ezizzeewo olwakalulu.

 

Leave a comment

0.0/5