Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero Alhajji Abdul Nadduli agamba nti bingi ebirina okukolebwa okuyamba abalimi okufuna mu byebakola.
Nadduli yabadde alambuza ekibinja kyabakungu okuva e Roma abazze okulaba embeera y’obudde mu Uganda n’engeri n’ekiyinza okukolebwa okuyamba abalimi okubaawo mu mbeera enzibu.
Abakulu bano okuva e Roma bazze kulambula bifo ebirimu ekibiina ekikola ku by’emmere n’obulimi ekya Food and agricultural organization.
Nadduli agambye nti yadde abakulu abali mu byobulimi bamanyi bingi, tebabisomesezza balimi ekikosezza omulimu gwaabwe