Skip to content Skip to footer

Muntu agenda kukola ekibiina ekikye

Bya Damalie Mukhaye

Eyali presidenti wekibiina kya Forum for Democratic Change Rt Meja Gen Mugisha Muntu ategezezza nti akoze ekibiina ekikye kyagambye nti baakukitongoza ku nkomerero yomwaka guno.

Bwabadde ayogera ne banamauwlire baatuzizza wano mu Kampala agambye nti abantu ba ddembe okubegattako, okulwanirira amazima nobwenkanya mu gwanga.

Ategezezanti ekibiina kino baakukitongoza nga 25th December ku nkomerero yomwaka guno.

Kati anokoddeyo okulemererwa okukwatagana mu ndowooza wakati we ne presidenti wa FDC Patrick Amuriat Oboi ngebimuviriddeko okugenda.

Mungeri yeemu ababaka ba palamenti abali mu 30 FDC baabulidde ekibiina nebagenda ne Gen Muntu, mu kibiina kye eippya.

Mu lukungaana lwabanamwulire luno, eyali Ssabawandiisi wa FDC Alice Alaso agambye nti abamu kwabo kubaddeko neba memba bolukiiko olwokuntikko olwa NEC, abalala bvudde mu kiwayi kyabakyala, nekyabavubuka.

Ono agambye nti baatudde nebakola okusalalwo okuzito nebava mu kibiina wakati mu kuguminkiriza ebizibu byonna ebyandibaawo.

Abamu ku betabye mu nsisinkano eno kuliko ababaka Ann Adeke, eyaliakulira oludda oluvuganya gavumenti Winnie Kiiza Paul Mwiru, Gerald Karuhaga, JB Nambaseh, Mbwatekamwa Gafa nabalala.

Leave a comment

0.0/5