Olwaleero ye nsalessale w’okugyako amassimu gaabo bonna abananawandiisa kaadi zaabwe.
Wabula bannamateeka abakola ku nsonga eziluma abanatu abaawamu aba Network of Public Interest Lawyers bawadde amagezi buli omu essimu ye enagibwako baddukire mu kkooti .
Omukwanaganya wabannamateeka bano Arthur Nsereko agamba abantu abamu bagenda kusubwa okuwandiisa amasimu gaabwe kubanga baalwawo okubawa endagamuntu zaabwe kale nga ssinsobi yaabwe.
Akakiiko k’ebyempuliziganya kategezezza nga bwekatanafuna kumanyisibwa kutongole kwonna kuva eri palamenti eyasazeewo okuwandiisa essimu kwogezebweyo yadde nga yo gavumenti ekyakalambidde nti leero bweluziba nga towandiisizza kaadi ya ssimu ebyokukba amassimu nga obyesonyiwa.
Olunaku lw’eggulo ababaka nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Winnie Kiiza baategezezza nti obulagajavu bw’ekitongole ekigaba endaga Muntu bwebuvuddeko abantu abangi okutuusa olwaleero nga ebanawandiisa ssimu zaabwe sso nga endaga Muntu zino zokka zezeetagisa okuwandiisa essimu.
Kiiza yategezeza nti abantu abatamanyi luzungu na luganda bagenda kulekebwa ebbali kubanga ennimi zino zokka zezikozesebwa mu kulabula abatanawandiisa massimu gaabwe.
Wabula ye akulira akakiiko k’ebyempuliziganya Godfrey Mutabazi atutegezezza nti mpaawo bbaluwa yonna gyebafunye kale nga banagifuna olwo baakulaba ekiddako.