Bya Ivan Ssenabulya
Minister omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu bwakabaka bwa Buganda Owek. Joseph Kawuki ajjukizza aba gavumenti eyawakati abakyalemedde ebintu by’obwakabaka okubizzaayo.
Minister Kawuki agambye nti abakulembezze basaanye okussa ekitiibwa mu ndagaano eyakolebwa mu mwaka gwa 2013 wakati wa gavumenti eyawakati ne Mengo ey’akomyawo ebintu bya Buganda.
Minister Kawuki abadde ku mbugga y’egombolora ya Ssabaddu Ntenjeru mu Kyaggwe, ngeno attongozza Ndaga-bwami.
Zino zakuweebwa abaami ba Kabaka mu Ssaza lye Kyaggwe.
Minister agambye nti endaga bwami, ze ID ezigenda okukozebwanga abakungu ba Kabaka.