Bya Tom Angulin.
Mukawefube w’okubbulula eby’obulimi,nate Daily Monitor ekuletedde omusomo gw’ebyobulimi omulala ogwa Farm clinic, okusobola okubangula abalimi kunima ey’omulembe.
Guno omusomo kuluno gugenda kubeera Ngeta Zadi mu district ye Lira , nga guno okusinga kwakuteeka omulaka kubutya abalimi bwebayinza okufuna mu nkyukakyuka y’obudde.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire,wano e Namwongo , akulira monitor publication Tony Glencross agambye nti abalimi ba Uganda bakyetaga okubangulwa bafuuke abalimi ab’ekyasa.