Bya Kyeyune Moses
Poliisi yakakwata abantu 104, abateberezebwa aokuba nti bebabadde emabega wobutemu obukeleddwa ku banatu abanene mu gwanga mu bbanga eryemyezi 6.
Mu kiwandiiko kyasomedde akakiiko kaa palementi ake dembe lybuntu, omumyuka womuddumizi wa polisi mu gwanga Brigedia Sabiiiti Muzeyi agambye nti tebatudde bakola kyonna ekisoboka, okuzuula abatuufu abatta abantu bano, wabeewo obwenkanya.
Abantu 9 ku bakwate era bekuusa neku butemu obwakakolebwa ku eyali omuddumizi wa poliisi mu district ye Buyende Muhammad Kirumira, atenga 8 nabo bekuusa ku kuttibwa kweyali omwogezi wa poliisi Andrew Kaweesi.
Abalala abasigadde bekuusa ku kitta bakulembeze babayisiraamu okwatandika mu 2012 nekitta abakazi mu district ye Wakis.
Wabula ababaka bemulugunyizza nti bangi, ku bantu abakwatibwa oluvanyumakizuuka nta tebalina kakwate ku butemu bwonna.
Ate mungeri yeemu poliisi egamba nti tenaba, nayenga essaawa yonna yakuzuula abatemula omubaka wa munispaali ye Arua Ibrahim Abiriga neyali omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi.
Abiriga yatemulwa mu June owomwaka guno, mu mbeera yeemu Kagezi gyeyatibwamu emyaka 3 emabega.
Omumyuka womwogezi wa poliisi mu gwanga Sabiiti Muzeyi ategezezza ababaka ba palamenti nti omuyiggo gugenda mu maaso.
Muzeyi agambye nti ku musango gwa Abiriga, okwekebejja obujulizi okwekikugu kugenda mu maaso.
Kati eno agambye nti omubaka wa munispaali ye Mukono Betty Nambooze, yoomu ku bateberezebwa okubaako kyebamanyi ku kuttibwa kwa Abiriga.