Bya Malikh Fahad
Wabaddewo obunkenke ku ssomero lya St. Gonzaga High school mu district ye Lyantonde omwana bwazalidde ku ssomero, nasuula omwana mu kabuyonjo.
Omwana ono abadde asoma S1, ku ssomero lino erisangibwa ku kyalo Kijjukizo mu district eye Lyantonde.
Okusinziiraku mukulu we ssomero Aloysius Mawulugungu nabo basigadde bewuunya, bwebawulidde amwulire gano.
Mawulugungu agambye nti bayise poliisi bukubirire nebagatibwako abatuuze nebasima kabuyonjo eno, era nebajjayo omwana owobuwala ngakyali mulamu.
Kati Kereni Namara omuddumizi wa polisi e Lyantonde akaksizza bino, nategeeza nti omuwala bamututte ku ddwaliro lya St Elizabeth okumpi awo okujira ngafuna obujanjabi.
Asabye abakulu bamasomero, okukeberanga ku baana okwewala ebintu nga bino.