Enguumi enyokedde ku kitebe ky’ekibiina kya DP oluvanyuma lw’ekibinja ky’abavubuka okulumba nga bawakanya obukulembeze obwayise ttabamiruka w’ekibiina kino.
Ekibinja kino kyonoonye ebintu ebiwerako nga baasizza n’endabirwamu z’ekizimbe era mu kavuvungano, basatu balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro
Bano era kigambibwa okuba nga bakuulise n’ebisumuluzo bya woofisi wa ssabawandiisi w’ekibiina .
Abamu ku bannakibiina balumiriza nti bano bawagizi ba munna DP Kato Lubwama nti era kubaddeko omuyambi wa loodi meeya Deo Mbabazi.
Yo poliisi yebulungudde ekifo kyonna okukakkanya embeera nga tewali akkirizibwa mu ofiisi w’ekibiina