Kkampuni nnya ezibadde zitwaala abantu ebweru ziggaddwa ne layisinsi zaazo nezisazibwamu lwakutunda bantu gyebabatutte okubafunira emirimu nebakola nga abaddu
Mu zino kuliko ey’omuyimbi Stecia Mayanja emanyiddwa nga Spema Uganda international limited.
Endala kuliko Migro opportunity limited, Oasis external employment agency, ne Al-salaam logistics consultancy.
Abakungu okuva minisitule y’ekikula ky’abantu n’eyensonga z’omunda w’eggwanga bebasazeewo okuggala kampuni zino.
Omukwanaganya w’akakiiko akatekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu mu ggwanga Moses Binoga agamba kampuni zino zibadde zifera abantu okubatwala ebweru w’eggwanga wabula olutuuka eyo nebabefuulira nebakozesebwa nga abaddu.
Binoga agamba kati kampuni 36 zeezirina olukusa okutwala abantu ebweru w’eggwanga era n’alabula bannayuganda okwegendereza kampuni zino ezigaddwa.
Agamba bakyanonyereza ku makampuni agasangibwa wali ku kizimbe kya Zainabu Aziza nga kampuni zino ezigaddwa nazo wezibadde.
