Kkampuni nnya ezibadde zitwaala abantu ebweru ziggaddwa ne layisinsi zaazo nezisazibwamu lwakutunda bantu gyebabatutte okubafunira emirimu nebakola nga abaddu
Mu zino kuliko ey'omuyimbi Stecia Mayanja emanyiddwa nga Spema Uganda international limited.
Endala kuliko Migro opportunity limited, Oasis external employment agency, ne Al-salaam logistics consultancy.
Abakungu okuva minisitule y’ekikula ky’abantu n’eyensonga z'omunda w’eggwanga bebasazeewo okuggala kampuni zino.
Omukwanaganya w’akakiiko akatekebwawo…
