Bya Ivan Ssenabulya
Entambula egotanyemu mu kibuga, enguudo ezimu bwezigaddwa, wakati mu kulambula kwa presidenti Museveni mu Kamapala olwaleero.
Presidenti Museveni agande kutukako mu banabusiness abenjawulo, mu ntekateeka ya gavumenti okuwagira.
Presidenti wakutukako mu basubuzi mu katael ke Nakasero, mu paaka enkadde nawalala.
Akulira abagoba ba Taxi mu Kibiina ekya UTRADA, Mustapha Mayambala atubuliidde nti enguudo ezimu zigaddwa, nayenga mmotoka agamba nti zikirizibwa okuyingira mu paaka okutikka abasabaze.