Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda.
Amyuka katikkiro ow’okusatu owe Apollo Makubuya agamba nti Namaganda afudde muto kyokka ng’alese omukululo.
Yye Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa alumbye gavumenti olw’obutakola kimala kulaba nti amateeka ku mwenge gassibwa mu nkola.
Nankabirwa agamba nti abantu bangi bavuga batamidde ng’eyabadde avuga Taxi bweyabadde kyokka nga tewali bibonerezo bikakali olw’amateeka amayabayaba.