WANDEGEYA
Bya Shamim Nateebwa
Waliwo omukazi kalittima eyakwatiddwa poliisi y’e Wandegeya ngakyaggaliddwa oluvannyuma lw’okwokya omwana wa muganda we akaveera lwa kubba nnusu 1000/-
Specioza Nabuuma yakwatiddwa n’aggalirwa lwa kwokya Carol Nabaweesi owemyaka 10 gyokka.
Kino kidiridde abasomesa ba Nabaweesi okumulaba n’amabwa ku bitundu byomubiri bwebamubuuzizza kye yabadde kwekubagamba nti nnyina yamwokezza.