Bya Emma Ssemambo
Police etegeezeza bwegenda okutandika okuwa obukuumu eri abakozi ba KCCA abakwasisa amateeka, nga kidiridde KCCA okutegeeza nti bano bagenda kujibwa ku nguudo olwokutya obulebe bubadde buyinza okubatusibwako.
Kati minister wa Kampala omukyala Betty Kamya asisinkanyemu adumira police ya Kampala ne’miriraano Frank Mwesigwa nebakaanya nti police yakukolera wamu nabakwasisa amateeka.
Kati minister wa Kampala Betty Kamya agambye nti akadde konna, abakwaissa amateeka bagenda kudda, waddenga babadde bajjuluddwa.