Poliisi mu district ye Iganga ebakanye nomuyiggo, ku baatemudde omuwala owemyaka 13, ngomulambo gusangidwa mu kitaba kyomusaayi.
Omugenzi ye Mary Kwagala ngabadde muwala wa Joyce Naluyange abatuuze ku kyalo Bulumwaki village mu gombolola ye Namungalwe mu district ye Iganga.
Omwana ono abadde yabula okumala bbanga, wabula maama we ategezezza nga bwemusanze mu kinnya nga mufu, ngera abatemu baliko ekiwandiiko kyebasudde nebbalagira babategekera ku ssente, kuba bakomawo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akaksizza nti okunonyereza ku ttemu lino kutandise.