Bya Samuel ssebuliba.
Police ye gwanga etegeezeza nga bwegenda okuzimba ekibinja ky’abaserikale abatendeke obulungi abagenda okuyambako mukulwanyisa ebikolwa eby’obusambatuko mu maka ebizze byeyongera buli kadde.
Bino bigidde mukadde nga Uganda yegatta kunsi yonna okukuza enaku 16 ez’okulwanyisa ebikolwa eby’obusambatuko mumaka kiyite 16 days of activism.
Bwabadde eyogerera mukukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa Police ye gwanga , amyuka ssabapolice we gwanga Brig, Muzeyi Ssabiiti agambye nti okutuukiriza kino batandise na kuzimba kibinja ky’abaserikale abakola ku nsonga z’amaka n’abaana, kiyite Child and Family Protection.
Ono agambye nti situgaanye bino bituukidwako, naye wakyaliwo obwetavu obw’okulaba nga abakyala abayingira police beyongera.