Bya Kato Joseph
Poliisi etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa mukyala mu town council ye Bulengaku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Owoyesigyire, ategezeza ngomulambo gwa Ruth Nansubuga bwegusangiddwa mu nnyumba ku kyalo Gogonya mu Bulenga B zone, nga kigambibwa nti yatiddwa abantu abatanaba kugerekeka, nekigendererwa kyabwe.
Owoyesigyire agambye nti omukyala ono abadde abera bwomu mu nnyumba, ngatemera mu myaka 56.
Poliisi egamba nti omuyiggo gugegenda mu maaso.