Skip to content Skip to footer

Abaakwatibwa mu Kisenyi balumirizza poliisi okubatulugunya

Bya Shamim Nateebwa

Abatuuze abaakwatibwa mu bikwekweto by’amagye ne poliisi mu Kisenyi ku ntandikwa ya week eno balojja okutulugunyizibwa okwabatusibwako, mu bikwekweto bino.

Ebikwekweto bino byayindira mu zone ya Muzaana n’ebitundu byomu Kisenyi ebirala, wabulanga abatuuze bagamba nti amagye ne poliisi tebitalizanga nabatali bamaneyi bamateeka.

Abantu abasoba mu 500 bagamba nti batataganyizbwa, mu mirmu gyabwe ebikwkeweto bino bwebyali bigenda mu maaso.

Kati abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe wa Muzaana Zone Saad Lukwago bagamba nti ikyamu abakuuma ddembe okujja mu kitundu nga tebamaze na kulaliika, awataali na kutegeeza ku bakulembeze mu kitundu.

Wabula omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Luke Oweyesigyire, yategezeeza nti abantu bebakwata bakubasunsulamu, abamu babayimbule.

Leave a comment

0.0/5