Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awaabye munne bwebesimbyeewo Hajati Fatuma Nabitaka owa NRM ng’amulanga butaba na bitabo.
Nambooze agamba nti Nabitaka yakoma mu siniya ya kusatu n’atandika okusomesa nasale kyokka oluvanyuma n’agobwa ku ssomero lya Kiwanga Umea.
Nambooze agamba nti bategese balooya baabwe abakulembeddwamu omubaka Medard Ssegona okulaba nti omukyala ono teyefuula ky’atali.
Nambooze ky’ayagala omukyala ono ave mu lwokaano kyokka nga yye tetumufunye kubaako na ky’anyega.