Skip to content Skip to footer

Munabyamizannyo Charles Muhangi afudde

Bya Benjaminn Jumbe

Poliisi essubizza nti yakunoyererza ku kiki ekyasse omusubuzi, era munabyamizannyo eyali omuvuzi we mmotoka zempaka Charles Muhangi.

Omugenzi asangiddwa amakya ga leero nga mufu mu maka ge agasangibwa e Buziga-Munyonyo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirraano Luke Oweyesigyire yakakasizza okufa kwomugenzi, nategeeza nti omulambo gugenda kwekbejjebwa, okuzuula ekimusse.

Kati poliisi egenda kukolera wamu naba family mu kunonyereza kuno.

Kati abantu abenjawulo beyiye mu maka gomugenzi, oluvanyuma lwamwulire gokufa kwa Muhangi, okuli nabakulemeze.

Minister owa guno na guli Mary Karoro Okurutu akungubagidde omugenzi, ngamowgeddeko ngabadde omuwagizi wa NRM owamanyi, kelnga egwanga lifiriddwa nnyo.

Yye omubaka wa Igara East mu palameni Micheal Mwanda, agam,bye nti entelateeka enetongole tezinafuluma ezinagobererwa mu kukungubagira omugenzi nayenga bazikolako.

 

Leave a comment

0.0/5