Bya Sam Ssebulina ne Ivan Ssenabulya
Poliisi enokoddeyo obuwangwa obumu, ngekizibu ekikyalemezaawo obutabanguko mu maka.
Bino webijidde nga Uganda nayo yetabye mu kawefube owe nnaku 16 okulwanyisa obutabanguko nebikolwa ebitulugunya abantu.
Okusinziira ku Akwango Ester akulira ensonga zabakyala mu poliisi ya Uganda, abakyala batulugunyzibwa abaami olwobuwangwa nti omukazi talina kunyega mu maaso gomusajja.
Ate olutalo olwokulwanyisa ebikolwa ebyokutulugunya abantu, twereddwa budde, ngokusinga kababe abakulembeze bogera ku byabufuzi wano na wali.
Okusinziira ku mubaka wa munispaali ye Mukono, Betty Nambooze, ensonga zekikula kyabantu zerabiddwa nnyo.
Agamba nti bingi ebikyetaaga okukolebwa, kuba nabamu tebamanyi bikwata ku kikula kyabantu.