Bya Damali Mukhaye.
Police etegeezeza nga eby’okwerinda bw’egwanga bwebimaze okuteeka, newankubadde gyebuvudeko abantu babade mukutya okw’ettemu eribadde mu gwanga.
Bino bigidde mukadde nga Police ekyanonyereza kubutemu obubadde mu gwanga era nga abasoba mu 104 bakwatiddwa kubutemu bwonna obubaddewo.
Kati leero aduumira police ye gwanga Martin Okoth Ochola agambye nti abantu abawerako bazze bakwatibwa, gamba nga 9 abaakwatibwa mukutibwa kwa Kirumira, 7 bakwatiddwa kukutibwa kwa Mohammed kiggundu, songa balala 8 bebaakwatibwa ku byokutta Gen Felix Kaweesi , ate 9 nebakwatibwa ku by’okutta Susan Magara.
Kati ono agambye nti embeera egenze ekakana, kale nga abantu tebagwana kuddamu kutya.