Bya Ruth Anderah.
Omu kubateberezebwa okwetaba mukutta Muhammad Kirumira kko n’omuwala Stella Nalinya Mbabazi asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ento wano Wakiso.
Omusajja ono Abubakar Kalungi nga mubazzi era omutuuze we Bulenga a tuusidwa mu kooti ku saawa nga musanvu wakati mubukuumi obwamaanyi
Ono bwatuuse mu maaso g’omulamuzi wa kooti eno Martin Kirya ategeezeddwa nti mu September 8th 2018 ku saawa nga biri ez’ekiro wano e Bulega yegatta n’abalala okutta Kirumira ne Nalinya.
Wabula ono takiriziddwa kubaako kyanyega , kubanga omusango gwaliko gw3anagomola gugwana kooti nkulu
Kati ono asindikiddwa mu komera e kigo okutuusa nga October 19th.