Bya Ssebuliba samuel.
Eyaliko Ssenkaggale wa FDC Dr Col Kiiza Besigye ategeezeza nga okuwandiisa abaserikale abejje ekuuma byalo aba LDU okugenda mu maaso bwekumenya amateeka, era nga kukontana namateeka ga UPDF.
Mukaseera kano government ewandiisa abantu 24000 okwegatta mu jje lino , nga amakulu kulwanyisa bumenyi bw’amateeka mu Kampala n’emiriraano.
Ono agamba nti eteeka elya UPDF act likirambika nti bano balina kuwandiika bakulemebeze bokubyalo , nebatendekebwa UPDF, kyoka eky’enaku nti ate kuluno amajje ga UPDF gegeewandiikidde abantu bano.
Kati ono agamba nti ekigenda mu maaso kikyamu, era nga kiraga nti bano bayinza okuba bajaasi abagenda okutigomya abavuganya gavumenti.
Wabula bwetwogedeko namyuka ayogerera government Col Shaban Bantariza agambye nti Besigye alabika abulidwako byakwogera.