Okusunsula abalondebwa ku bwa Minista kufundikiddwa.
Muno mwemubadde ne ssabalamuzi omuggya Bart Katureebe kko n’omumyuka we Steven Kavuma
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuyita mu kakiiko akasunsula abalondeddwa omukulembeze w’eggwanga, Katureebe agambye nti wakuyimirira nga yetongodde era ng’obwenkanya kw’ajja okutambuliza ensonga
Ono era asaabuludde abantu byebabadde batandise okwogera nti ayinza okukyuka engeri pulezidenti gyeyamuwadde omulimu
Agambye nti kw’agenda okussa essira gw’omuwendo gw’abalamuzi kyokka nga kino kyetaaga ssente era nga wano w’asinzidde n’asaba gavumenti okwongera ku nsimbi z’awa ekitongole ekiramuzi
Katureebe yalondebwa okudda mu bigere bya Benjamin Odoki
Bbo ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti bekandazze nebafuluma mu kakiiko akakakasa ababa balondeddwa omukulembeze w’eggwanga.
Bano babadde balaga obutali bumativu bwabwe ku neyisa y’omulamuzi Steven Kavuma eyalondebwa ku bw’omumyuka bwa ssabalamuzi w’eggwanga nga bamulumizriza okweyisa mu ngeri atasaana.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Oguttu bategezezza nga bwebatayinza kubeera bamu kwabo abagenda okukakasa omuntu atayise mu mateeka okufuna ekifo kino nga era bamulumiriza okubeeramu kyekubira.
Ate ababaka ba palamenti okuva mu bukiikakkono bw’eggwanga baddukidde mu kkooti etaputa ssemateeka nga bawakanya eky’okulayiza ba minisita abalondebwa
Bano abakulembeddwaamu omubaka Hassan Fungaroo Hassan agamba nti olukalala lwa ba minisita lwaalimu obutenkenya ng’ebitundu ebimu byafunamu okusinga ebirala
Fungaroo agamba nti obugwanjuba bwebwasinga okufunamu ate ng aba minisita balina okuva mu bitundu byonna.