Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayisizza ekiragiro ekiyita omusawo omukugu mu nsonga z’abakyala Dr Tamale Ssali.
Kiddiridde ono okwepena akakiiko kano omulundi ogw’okubiri okunyonyola engeri gyeyafunamu ettaka erya Kitante pimary school.
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, akulira akakiiko akanonyereza Robert Migadde agambye nti ono alina okunyonyola engeri gyeyafunamu yiika ettaano ennamba ezaali ez’essomero.