Bba w’omuyimbi Stecia Mayanja addiziddwaayo mu kkomera e Luzira
Kino kikoleddwa okuwa oludda oluvuganya obudde okwekebejja empappula z’abajulirwa abaleeteddwa Abbas Mubiru ng’asaba okweyimirirwa
Ku bano kuliko Victoria Bukenya omutunzi w’essimu , Andrew Kayonga omutunzi w’emmotoka, ne Godfrey Ssebaggala omusuubuzi ku Mutaasa Kafeero
Omulamuzi omukulu owa kkooti eya Buganda road Lilian Buchana kati omusango ogwongezezzaayo okutuuka lw’enkya lw’anasalawo oba ono amuyimbula oba nedda
Mubiru avunaanibwa kukozesa lukujjukujju okunyaga Ronald Ddanze obukadde 45 okumuguza ettaka e Lubowa lya kyokka n’atalimuwa ate ne ssente n’azirya