Abaana 75 awamu beazaliddwa mu malwaliro ga Kampala okuli Kawempe, Naguru, Nsambya, Rubaga ne Mengo.
Kuno kubaddeko abalongo emigogo ebiri, bebazalidde e Kawempe nabalala mu ddwaliro e Nsambya.
Ba maama 12 bebalongoseddwa, nga 9 balongoseddwa mu ddwaliro e Kawempe ettabi lye Mulago, 1 e Naguru ate 2 mu ddwaliro e Mengo.
Okusinziira ku mwogezi we ddwaliro lye Kawempe, Sarah Ndibarekera 4 bebakumibwa mu kiffo ekyenjawulo olwokuzalibwa nobuzibuzibu obwenjawulo.
Abaana abobuwala bebasinze okuzalibwa 48 ate abalenzi 27.
Yye akulira ku ddwaliro lye Mengo Lydia Kinobe agambye nti 4 babazaliddwa, 3 balenzi nomuwala omu.