Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye alabudde abalondedwa okukulembera emukago omugya ogwa Democratic Alliance ,nti government egenda kubwa akadde akazibu, era nga basaanye okubeera abulindaala.
kinajukirwa nti bano amakya ga leero bakedde kwekolamu mukago gwebatuumye Democratic alliance nga guno ekigendererwa kyakutwala buyinza mu mwaka 2016, songa bakanyizza n’okutondawo akakiiko aketongodde kalonde omuntu omu agenda okuvuganya ne NRM
Besigye agamba nti okusinziira ku government gyamanyi bano tegenda kubawa kade kangu,kale nga balina okuyingira mukino nga bamazze okweywezza
Mungeri yeemu eyaliko minister w’ebyobulimi Hope Mwesigye ategeezeza banamukago nti bagenda kufuna obuwagizi bungi okuvva bannakibiina kya NRM abaagala enkyukakyuka
Okusinziira kukiwandiiko ky’ebatadeko omukono,bano baakukola government eyakaseera eganda okukola emyaka 5 gyoka ,n’oluvanyuma okulonda okw’amazima n’obwenkanya kutegekebwe.
