Skip to content Skip to footer

Pulezidenti agamba ebyenfuna bya uganda bwebikula kiralu.

Bya Samuel Ssebuliba.

Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni ategeeza nga abatemu abali mu kampala  abazze batta abantu bwebalina ekigendererwa kyakuzza gwanga mabega naddala mu byenfuna.

Ono agambye nti abawalanya Uganda batandise okufuna ensaalwa bwebakitegedde nti ebyenfuna bya Uganda kati biyinza okukula n’ebitundu 7%, okuva ku bitundu 5.8% ebyali bisubiddwa nga omwaka guno gutandika, kale nga okulemesa kino kati basazeewo kutta bantu.

Ono agamba nti ne government olutegedde bino kwekusalawo okutandika okuyigga abakola bino, kale nga y’ensonga lwaki ne leero akedde kutongoza camera ezigenda okulondoola ekibuga, nga zino zitekeddwa wano e Nateete.

Wabula ono agambye nti government ku nsonga z’ebyenkulakulana tegenda kutuula, era nga wano okusinga esiira balitadde nyo ku byobulimi ebisinga okukozesa abantu abangi.

 

Leave a comment

0.0/5