Bya Samuel Ssebuliba.
Abakulu mu FDC bambalidde omukulembeze we gwanga nga bagamba nti ono yava ku mulamwa ogwalwanya bajjajafe abaleeta obwetwaze, kati yeefako yekka nga omuntu, naabo abamuli okumpi.
Bwabadde ayogerera mu musomo gwebategese wali ku kitebe kyekibiina e Najjanankumbi, President w’ekibiina kino Patrick Amuriat agambye nti bajajafe mukulwana kwebaaliko tebaakimanyaako nti abakulembeze abaliddako balirumya abantu obwavu, balireeta enguzi, okwefaako, kko n’ensonga endala.
Kati ono agambye nti abantu bwebaba bakufuna mu bwetwaze bwayuganda , buli munnayuganda agwana atandike okufuna edembelye awatali kusosola, songa mungeri yeemu wagwana waberewo n’okukyusa obukulembeze okw’emirembe.
Wano era nakulira oludda oluvuganya government omukyala Betty Achan wasinzidde nategeeza nga abavubuka bwebagwana okwewala okukozesebwa , naddala nga bakirizza obusimbi obutono obubaweebwa bwava ku mulamwa.