Bya Damali Mukhaye.
Olunaku olwaleero abaana aba S.4 lwebagenda okutandika ebibuuzo byaabwe, nga n’ekibuuzo kyebasokeramu kyakumanya byebagenda kugoberera nga bakola ebibuuzo byenyini ebitandika ku Monday ya sabiiti ejja.
Twogedeko n’omuwandiisi w’ekitongole kino Dan Odongo, naagamba nti okulambika abaana kuno kulina kukolebwa abakulira amasomero benyini, era nga bakubategeeza buli kyebeetaga okumanya nga tebanagenda mu bibuuzo bino.
Ono agambye nti bakakasizza nti abaana abasoba mu 300,000 bebagenda okutuula ebibuuzo bino okutandika ku Monday ate bikomekkerekezebwe nga 16th omwezi ogujja.