Bya Ben Jumbe.
Minisitule ekola ku bigwa tebirazza etegeezeza nga bwegenda okutandika okusengula abantu ababade mu bitundu by’olusozi Elgon.
Kino kijjidde mukiseera nga amawuliire okuva mu district ye Bududa galaga nga omuwendo gw’abafudde bwegutuuse ku 40 okuva ku 38 webwakeredde.
Gyebuvudeko twogedeko n’omubaka omukyala owa district eno Justine Khainza naagamba nti edwaliro elya Buduuda Hospital webakunganyirizza abantu abasoba mu 100 abasimatusse n’ebiwundu, wabula nga omutawaana oguliwo nti abasawo tebamala.
Kati ono asabye minisitule ekola ku byobulamu okwanguwa okubasindikira kubuyambi bwabasawo batase embeera.
Mukwogerako ne commissioner kunsonga z’ebigwa tebnirazze mu office ya ssabaminisita nga ono ye Martin Owor , agambye nti okusengula kwabantu kuludewo olw’ obutaba nansimbi zimala kukola kino.