Bya Damalie Mukhaye ne Benjamin Jumbe
Omukago gwa Bulaaya gulaze okutya ku mbeera gyokunygiriza banamawulire gyebuvuddeko eri mu Uganda.
Mu kiwandiiko ekyawamu kyebafulumizza bagambye nti banakuwavu, kungeri poliisi gyebumbululamu abekalkaasi, n’okunyigiriza banamwulire.
Kati gavumenti esabiddwa okutekesa amateeka gonna mu nkola agakwata ku banamwulire, nokussanga ekitiibw amu ddembe lyobuntu.
Kati banamawulire batadde ssenkulu wakakiiko akebyempuliziganya mu gwanga Godfrey Mutabazi alekulire olwokulinyirira eddembe lyabanamwulire.
Kino kyadiridde ekiragiro kyamutabaazi eri emikutu gyamwulire okugoba abamu ku bakozi, bagamba nti baakola ebitatukanye nomutindo gwebiwerezebwa ku mpewo, nga yekuusa jku mauwlire gomubaka Robert Kyagulanyi.
Bwabadde ayogerera ku mikolo gyolunaku lwe ddembe lyabanamawulire, munamwulire owebifananyi akolera wano ku daily monitor Abubaker Lubowa agambye nti kimalamu amanayi, Mutabazi talina kyamanyi ku byamwulire nga kiba kizbu okubalungamya.
Asabye omukulembeze w egwanga Yoweri K. Museveni okulonda ssenkulu wa UCC omulala, ategeera ebikwata mu mauwlire ne banamwulire byebayitamu.
Wano wenyini omumyuka wa presidenti wekibiina ekigatta banamwulire mu gwanga, ekya Uganda journalist association Mercy Namirembe aagambye nti bagala UCC esazeemu ebiwandiiko byeyafulumizza, oba ssi ekyo baakubatwala mu kooti.