SSSEMBABULE
Bya Malikh Fahad
Ng’omuwendo gwa’bakyala abakatibwa mu district ye Wakiso gweyongedde nga baweze 19 mu banga ettono, ate e ssemambule mu gombolola ye Lugusulu waliwo omukazi attidwa omulambo negusuliibwa mu muwogo.
Attidwa ye Getrude Byakatahi omutuuze we Nyalukingi, ng’omulambo gwe guzuulidwa abaana ababade bagenda ku masomero.
Okunoonyereza kwa Police okusooka kulaze ng’omukyala ono bwey’alumbidwa batemu mu makaage nebamukuba okukakana nga bamusse.
Ayogerera police yeeno Lameck Kigozi akakasizza okutibwa kwomukyala ono.