Skip to content Skip to footer

Ettaka Libumbulukuse e Sironko, Abatanamanyika Muwendo Bafu

Bya Yahudu Kitunzi

Abantu 4 bandiba nga babutikiddwa ettaka mu distrct ye Sironko, akawungeezi akayise nga kino kidiridde ensozi okubumbulukuka, okukakana nga zibisse abantu abatanamanyika muwendo.

Omubaka wa  government mu district eno Moses Wamoto Kigai  agambye nti enjega eno ebeddda ku kyalo Masaba mu gombolola ye Masaba  wabulanga nakakano bakyanoonya abamu kubatuuze abakyabuze.

Ettaka lino okunyukirira kidiridde olwenkuba enkuba ey’amaanyi okutonya okuva ku lunnaku lwa Sunday, ngamayumba amakumi 40 gasanyizidwawo.

Marion Namono, akulira eby’obutonde bwensi  mu district eno n’agambye nti abatuuze abakosedwa badukidde mu bitundu nga Bunamubi, Bulucheke ne Kushu.

Mungeri yeemu twogedeko ne John Nambeshe,  omubaka akikirira  ekitundu kye Majiya  n’agamba nti waliwo enjatika z’ebalabyeko mu bifo nga Bushiyi, Nametsi nebirara nga waliwo okutya nti obulabe obulala bujja.

Kinajukiwa nti embeera yeemu yaliwo mu mwaka gwa 2010, ng’abantu abasoba mu  350 bebafa, ate mu mwaka gwa 2011 abalala 28  nebafa .

Wabula bino webigidde ng’enjega yeemu yakajja ne Buduuda , ngeno abantu abasoba mu 200 tebakyalina w’ebabeera.

Leave a comment

0.0/5