Skip to content Skip to footer

Poliisi eri mu ttabbu lwa buwmbi 22

Bya Kyeyune Moses

Akakiiko ka palamenti akalondoola enasanya yensimbi mu bitongole bya gavumenti, aka Public Accounts Committee katadde poliisi ku nninga okuzza ensimbi obuwumbi 22, oba ssi ekyo bakuvunanibwa mu mateeka.

Kino kyadiridde poliisi okulemwa okunyonyola mungeri ematiza, ensasanya yensimbi zino, ezaali ezokutendeka absirikale mu mwak gwa 2015.

Mu alipoota eya Ssababalirizi webitabo bya gavumenti, yalaga nti ensimbi zino zandiba nga zabuuka amakyo, nga ne Ssabapolsi we gwanga Gen Kale Kayihura teyaziterako Mukono.

abulira kulira ebyensimbi mu kitongole kya poliii Rogers Mihairwe ategezezza ababaka ku kakiiko kano, nti ensimbi baazikozesa bulungi nga baatendeka absirikale 250, nebakuguka mu byempisa.

Ono era agambye nti batendeka nabsirikale abalala 5,000 ku ddala erya constable wakati mu kwetegekera okulonda kwa bonna okwa 2016.

Leave a comment

0.0/5