Bya Ruth Anderah.
Kooti y’amajje etude wano e Makindye ekalize abasajja 2 kwabo omusanvu abavunaanibwa ogw’okulumba abantu e Masaka nebabba kko n’okubatta .
Kati bano bakaligiddwa emyaka 80 oluvannyuma lw’okukkiriza emisango gy’obutemu n’obunyazi.
Abasibiddwa kuliko Jumba Derrick ne Bukenya Kiiza nga bano bombi batuuze be Masaka.
Bano kidiridde okukiriza omusango mu kkooti y’amajje e Makindye nga enkulembebwamu Lt. Gen.Andrew Gutti.
Emisango gyebakiriza mwemuli ogw’okutta Musinguzi Moses ne Kiggundu saako n’okunyagulula obukadde obusoba mu 430.
Bwabadde abakaliga, sentebe wa kkooti y’amagye Lt.Gen Andrew Gutti agambye nti wadde nga bano teboonoonye biseera bya kkooti naye ate baviirako okuttibwa kwabantu babiri era kkooti kwekubasiba emyaka 80 ku misango 2, wabula nga gino bakugitambuliza wamu- kwegamba bakusibwa emyaka 40.
Ababiri bano ne bannabwe bebakyanonyerezako wakati wa June ne July 2018 balumba ettundiro ly’ebizimbisibwa ku muto Complex e Masaka ne batta abantu 2 saako nokunyagulula obukadde 435 nga bakozesa emmundu.