Skip to content Skip to footer

Kitatta alumiriziddwa ku Butemu.

Bya Ruth Anderah.

Eyali omuyima wa Boda Boda 2010 Abdullah Kitatta alumiriziddwa okubeera omusaale mukulemesa okukwatibwa kwa mugandawe Kiwalabye, kyoka nga ono obukakafu weebuli obulaga nti yeeyatta emabega w’okutibbwa kw’omukozi wa case clinic Francis Ekalunga.

Obujulizi obuleteddwa Major David Agaba eyali akolera ekitongole ky’amajje ekya CMI bulaze nga ono bweyafuna ebiragiro okuva eri bakamaabe aba CMI okukwata kyewalabye kyoka bwebaatuka e Nateete aba Bodaboda abaali baduumirwa Joel Kibirige nebabamesa.

Ono agamba nti bwebakwata Joel yabategeeza nti kitata yeeyali amulagidde okukola kyonna ekisobola okulemesa ekikwekweto kino .

Major agaba agamba nti wano webaasitukira okudayo nebakwata Kitatta ono era nga baamusanga ku Vine Hotel in Rubaga Division nga yekwese mu kaabunjo, kyoka nga alina pistol n’emundu endala ekika kya SMG.

Bano bonna kati bali luzira nga omusango.

 

 

 

 

 

Leave a comment

0.0/5