SSabasajja Kabaka akunze abaganda okuweerera abaana n’okubakuuma nawookera wa Mukenenya
Ssabasajja byonna abyogedde alabiseeko eri Obuganda ku mikolo gy’okusiima abayizi abayimba n’okuzina ku Ssomero lya St Peters Primary school e Luweero
Omutanda agambye nti kikulu emiti emito okugikuuma kubanga gwe musingi gwa Uganda ne Buganda
Omutanda era asinzidde ku mikolo gino n’ayozayooza omulangira William Gabula Nadiope olw’okutuuka ku buwanguzi
