Bya Ruuth Anderah.
Kooti y’amajje etuula e Makindye kyadaaki etadewo olw’anga 6th November 2018 nga olunaku lwegenda okuweera ensala yaayo kukusaba kwa Abdul Kitata mwayagalira okuteebwa ku kakalu ka kooti.
Omuwabi wa government mumusango guno Captain Samuel Masereje asoose kuwakanya kuteebwa kwa Kitatta ono nga agamba nti omusango gwalina gwanaggomola, kale nga tagwana kuteebwa.
Captain Masereje akalambidde nga agamba nti wetagwawo obukakafu okulaga nti Kitatta mulwadde nga bwagamba, ate nga mukadde.
Ye munamateeka wa Kitata Carina Owomugisha agambye nti muntuwe mulwadde ebitagambika, alina ekirwadde kya pressure ne sukaali , kale nga yeetaga okujanjabibwa okwamangu.
Bino nga tebinabaawo kooti yeemu esoose kwongezaawo olunaku olw’okuwulirirako omusangogwe okutuusa nga 13th November.
Ssentebe wa kooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti yayongezezaayo omusango guno oluvanyuma lwa munamateeka wa kitata Shaban Sanywa okukunya omujulizi wa government Major David Agaba.