Bya Prossy Kisakye, Eyaliko senkagale w’ekibiina kye by’obufuzi ekya FDC Dr Kizza Besigye agombebwamu obwala poliisi oluvanyuma lw’okulemesa olukungana olwategekebwa abakulembeze b’ekibiina kino wali ku kisaawe e Namboole.
Bano babadde bategese olukungana lw’ekibiina ku kisaawe kino wabula bagenze okutuukawo nga poliisi ne bikola byayo byonna yatuusewo dda nga n’emilyango egiyingira ekisaawe gyonna kiyiridwako abakuuma ddembe
Besigye ngali wamu nomukulembeze wa FDC Patrick Amuriat balagiddwa okudda gye bava wabula bagenze okutuuka e Kireka nga e mamba ne bimotoka bya tiyagaasi bya balinze dda.
Olwannamungi womuntu abadde yeyiye mu kkubo nga balaga obuwagizi bwabwe oli Besigye poliisi ewalirizidwa okukuba amasasi nomukka ogubalagala okubagumbulula
Ebyentambula bisanyaladde okumala essaawa eziwerako nga teri motoka eyingira oba okufuluma e kibuga
Oluvanyuma poliisi Besigye e mukute ne mutwala ku poliisi ye Nagalama