Bya SIMON PETER EMWAMU Amataba gagotanyizza ebigezo by’akamalirizo eby’ekibiina eky’omusavu mu disitulikiti okuli Katakwi, Kapelebyong n’ebitundu ebimu ebya Bukedea
Kino kiviriddeko masomero mu disitulikiti zino okutandika ebigezo ekikeerezi. Samson Okare Olaki,akolanga akulira eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Kapelebyong atubuulidde nti ebigezo bituuse ekikeerezi mu bitundu bye Okoboi olw’engundo embi.
Ono ategeezeza nga abayizi1,698 bwe batudde ebigezo byabwe mu bifo 21 mu disitulikiti eno empya eya Kapelebyong.
Patrick Ogwali, omulondoozi wa masomero mu disitulikiti y’e Katakwi ategezezza nga nabo bwe basanze ekizibu kyekimu.